23.6 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Poliisi ekubye omu amasasi ng’ekwata abasudde emisanvu.

Kabangali ya Poliisi ebadde erawuna e Matugga eriko omusajja gwekubye esassi nekwata n’omulala oluvannyuma lw’okubagwikiriza nga basudde emisanvu ku luguudo lwa Semuto – Matugga okusobola okunyaga abantu mu kiro ekikeesezza Olwokubiri.

“Bano abalowoozebwa okubeera ababbi emisanvu bagisudde mu kiko kya Kavule ku ssaawa nga 9 ku Mmande era wano poliisi eyabadde erawuna yasanze basazeeko enguudo e Kavule ne Gombe ku luguudo lwa Semuto  Matugga era mu mmita nga 30 babadde basimbyewo Tukutuku,” omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirilaano Patrick Onyango bw’ategeezezza.

Onyango agamba nti bano olwalabye poliisi, Tukutuku neesimbula era wano abasajja abawera 4 nebava mu nsiko nebagirinya nesimbula.

Wano poliisi yabasimbyeko nga eyagala okubakwata naye Tukutuku yabalese era bwetyo nekwata ekye Busakya neva ku kkubo eddene.

Onyango agamba nti wakati nga poliisi egobagana nagambibwa okubeera ababbi bano abapoliisi bakubye amasasi negalumya Lazarus Kibuuka era nekwata ne Jimmy Kasozi ate abalala basatu nebadduka.

Poliisi etegeezezza nti ekikko kino bano webabadde basudde emisanvu kyekimu ku bifo eby’obulabe mukitundu kino nga ababbi bateegerawo nnyo abantu nebabanyagulula.

Okusinziira ku poliisi, ababbi bano bakozesezza ekiyinja ekinene wamu nekitebe  okussaawo emisanvu era babadde bagenderedde kunyaga bantu bakomawo okuva mu bikujjuko bya Sekukkulu nga badda mu katawuni ke Kavule.

 

 

Related posts

ZUULA N’OMUKUGU KUBATALYA NYAMA

OUR REPORTER

Engeri obubinja bwa babbi gyebutadde oluguudo lwa Northern By pass ne Kampala ku bunkenke.

OUR REPORTER

Abagoba be mmotoka 21,656 bakwatiddwa.

OUR REPORTER

Leave a Comment