Poliisi e Mbale eyongedde amaanyi mu kufuuza obumenyi bw’amateeka n’abakozesa ebiragalalagala neesaanyaawo ennimiro z’enjaga 4 nga muno bakwatiddemu n’abantu 6 abagambibwa okuba nga be bagirima. Ekikwekweto kino kibadde Namatala.
Aduumira poliisi y’e Mbale Arafat Kato nga yeyakulembeddemu basajja be yagambye nti abantu b’ekitundu kino bakozesezza omukisa gw’omuggalo bubi ne balima enjaga mu bikomera, nga bagisibira munda era kizibu okutegeera kiki kye bakola munda omwo era ku mulyango basibako ne kkufulu. Abakwaatiddwa basangiddwa ng’abamu bakoola mu njaga eno, bano bagenda kuvunaanibwa okulima enjaga n’okugisaasaanya.
Era mu bikwekweto bye bimu poliisi by’ekoze okufuuza obumenyi bwa mateeka, bayodde bannannyini bbaala eya Cossy Point e Namatala bebaasanze nga banywa ng’ate omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni yaggala ebbaala. Abakwaatiddwa bagenda kuggulwako ogw’okutyoboola ebiragiro bya Pulezidenti ne minisitule y’ebyobulamu ku kutangira Corona.