Poliisi y’e Katwe ekutte 5 n’amajambiya wamu n’obukookolo bye babadde beeyambisa okutigomya abatuuze mu bitundu by’e Makindye.
Bano babadde batambulira mu mmotoka ya buyonjo namba UBJ 267T, era nga kiteeberezebwa nga baliko gye baabadde bagenda okulumba mu kiro ekikeesezza olwa leero ku Lwokusatu.

Amyuka Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire yeebazizza ekitongole kya Poliisi ekikkessi ekya Crime Intelligence ekikulembeddwamu Ismael Ssennono abatebuse abasajja bano ne babakwata nga tebannagenda kutuusa bulabe ku batuuze