ABATUUZE b’e Nalukolongo baguddemu encukwe, bwe bagudde ku mulambo gw’omusajja atannamanyika mannya nga gutengejjera ku mazzi mu mwala gwa Nalukolongo Channel okumpi ne kkampuni ya Songodo.
Okusinziira ku ndabika y’omulambo, gubaddeko ebinuubule ku mutwe n’engalo nga gulaga nti guludde mu mazzi, ekiteeberezebwa okuba nga yafiiramu ennaku nga ssatu emabega, kuba gubadde gutandise okuvunda.
Poliisi okuva e Nateete ng’ekulembeddwau Hassan Ssekalema agitwala, etuuse n’eggyawo omulambo n’egwongerwayo mu ggwanika e Mulago okwongera okugwekebejja kyokka omugenzi teyabadde na bimukwatako.

Okusinziira mu ndabika ye, abadde musajja munene ng’ali mu jaketi, munene muwanvu atemera mu myaka nga 30 okudda waggulu.
Hassan Ssekalema, atwala poliisi y’e Nateete yagambye nti, omugenzi yandiba nga yatemulwa n’asuulibwa mu mwala, kuba abadde n’ebiwundu ku mutwe, ng’alabika amaze ennaku nga ssatu nga yattibwa n’asuulibwa mu mazzi. Ayongeddeko nti ffeesi ye ebadde ezimbye nnyo nga kizibu okumutegeera.
Agambye nti, omulambo bagututte mu ggwanika e Mulago, era okunoonyereza kutandise nga bwe balinda ab’enganda z’omugenzi okuvaayo okumutwala, n’asaba abantu bonna abaabulwako omuntu waabwe okunoonyaako mu ddwaaliro ekkulu e Mulago balabe oba nga ye waabwe.