Poliisi erangiridde ebikwekweto ku ba booda booda abavugisa ekimama mu kaweefube w’okulwanyisa obubenje obususse ku nguudo .
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa omwogezi wa poliisi y’ ebidduka mu ggwanga, ASP Faridah Nampiima, agamba nti obubenje obusinga buva ku ba booda booda ekibawaliriza okubaako kyebakola.
“Kizuuse nti booda booda zifuuse ekirala ku makubo. Buli bubenje butaano obutuukawo, obuna bubeeramu booda booda era abantu babufiiramu. Nga tuyingira mu ggandaalo lya Ssekukkulu tugenda kukola ebikwekweto nga tutandika ne Novemba 7,” Nampiima bwe yagambye.
Ono yannyonnyodde nti basuubira aba booda booda okwambala bujaketi, Helementi, obutatikka muntu asukka omu awamu n’okubeera ne ‘3rd Party Insurance’ era bagondere amateeka g’enguudo .
Nampiima yasabye abantu wonna gyebali okubayambako okukola ku kizibu kino okusobola okukendeeza ku bubenje obususse.
Ono yalaze okutya ku ba booda booda bagamba nti tebamanyi wadde amateeka g’enguudo agasookerwako nga kati basazeewo okubasomesa basobole okukyuusaamu.
Nampiima asabye abasaabaze abatambulira ku booda booda bayambeko okulambika abavuzi bano basobole okugoberera amateeka g’ekkubo.
Kino kiddiridde Sipiika wa Palamenti Anita Among okusisinkana Amyuka Ssaabaduumizi wa poliisi, Maj Gen Tumusiime Katsigazi eggulo ku Lwokubiri namusaba abeeko kyakola ku bubenje bwa booda booda obususse okufiiramu abantu.