Bya Musasi Waffe
Poliisi erinnye eggere neremesa abayizi ba Islamic University In Uganda (IUIU) abasoma amateeka ababadde bategese okwekalakaasa nga bemulugunya ku marks zaabwe ezamasomo ga kkoosi waaka ezitaabaweebwa, abayizi babadde bategese olwaleero ku Monday nga 14/02/2022 okwekalakaasa nga balaga obutali bumativu ku ngeri abakulira ettendekero gye bakuttemu ensonga zaabwe. Omwogezi wa IUIU Rehema Kantono yagambye kituufu abayizi abasoma amateeka baalaga okwemulugunya kwaabwe okuviira ddala emabega naye kirabika okwemulugunya kwaabwe tekwakolebwaako kwe kusalawo okwagala okwekalakaasa, naye ensonga zaabwe zirina okugonjoolwa tuleme kubaawo na kwekalakaasa. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Elgona Rogers Tayitika yagambye poliisi okuyungula basajja baayo yabadde etangira ekiyinza okukulembera okwediima kwa bayizi, era poliisi yasobodde okussa embeera mu nteeko abayizi ne batekalakaasa, wabula yagambye nti abakulira ettendekero lino be balina okukwaatagana na bayizi bagonjoole ebizibu byaabwe na bayizi, wetugendedde mu kyaapa nga embeera poliisi egirina mu nteeko, era tewali yakwaatiddwa.
Abamu ku bayizi ba mateeka bagamba nti obukulembeze obuliko kati tebaagala kuteesa na bayizi, kyokka nga eyali akulira ssettendekero lino eyawummula Ahamed Kaweesa Ssenngendo yalinga atuula na bayizi ne bagonjoola ebyaalinga bisobye, ye nsonga lwaaki ebbanga lye yamala tewaberangako kwekalakaasa kwonna ku IUIU, obukulembeze obuliko babulumiriza obutaagala kuwuliriza nsonga za bayizi.