17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Poliisi erina byezudde ku musirikale akubye omuyindi amasasi.

Munnansi wa Buyindi  akubiddwa amasasi agamutiddewo ku kizimbe kya Raja Chambers ku luguudo lwa parliamentary avenue mu kibuga Kampala.

Attiddwa atanategerekeka mannya y’abadde manager wa TFC financial services kampuni empozi yénsimbi, era kigambibwa nti ensonga emuttisiza evudde ku nsonga ya loan ebadde ebanjibwa omutemu ategerekese nga Constable Ivan Wabwire, nga ono abadde mukuumi ku kitongole kino ekya TFC financial services.

Kigambibwa nti Wabwire olumaze okumukuba amasasi nálinnya bodaboda nátwala emmumdu ye nágisuula ku kitebe kya police ekya CPS mu Kampala nábulawo.

Police efulumizawo ebitonotono ku byeyakazuula ku ttemu lino, eribaddewo ku ssaawa nga musanvu ezémisana.

Omwogezi wa Police mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango agambye nti omusirikale wa Police Ivan Wabwire ali ku ddaala lya Police Constable yakubye omuntu amasasi agamuttiddewo.

Patrick Onyango wabula ategezeza nti ekivuddeko byonna kikyanonyerezebwako.

Onyango agambye nti Omusirakale ono Ivan Wabwiire abadde amanjibwa ga mirundi ebiri geyeewola  okuva nu kampuni yómuyindi ono omuwozi wénsimbi,  wakati wómyeka  2020 ne 2023.

Onyango agambye nti byebaakazuulawo biriga nti  omusirikale ono olunaku olweggulo yatuuseeko mu woffiisi ya money lender okumanya ebikwata ku bbanja lye, wabula tekinamanyika ate kimubagudde kukomawo kumukuba masasi

Related posts

Eyasse mukaziwe n’abaana asindikiddwa ku alimanda.

OUR REPORTER

Abasangiddwa ne Layini z’amasimu ez’enjawulo baggaliddwa.  

OUR REPORTER

Ebikwata ku mpaka za Olympics eziri mu Tokyo-Japan.

OUR REPORTER

Leave a Comment