Poliisi y’eggwanga etandise omuyiggo ku bawagizi ba NRM naba NUP abalwanidde mu maka ga Hajji Abdul Nadduli bwebabadde baziika mutabani we Jakana Nadduli.
Jakana Nadduli yasangiddwa mu makaage nga afiridde mu buliri wabula abantu ab’enjawulo naddala bannabyabufuzi batandise okubaako bebasongamu nga bagamba nti balina kyebamanyi ku nfa ya Jakana.
Era wano Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yalagidde wabeewo okunoonyerea ku nfa ya Jakana ensi esobole okutegeera ekituufu.
Wabula eggulo mu kumuziika e Kadunda – Kapeeka mu Nakaseke aba NRM nga bakuliddwamu Mpologoma Majjambere balwanaganye naba NUP oluvannyuma lwa Majjambere okubalemesa okwogera era omukolo negusooka gusanyalalamu okumala akaseera.
Ekiwandiiko ekifulumiziddwa poliisi ku Lwokubiri, Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti batandise okunoonyereza ku fujjo lino awamu n’akabinja k’abavubuka akamu akeefudde ekirala mu kutabangula emirembe.
“ Waliwo aba Opozison abeeyisa mu ngeri etasaana ku mikolo gy’okuziika. Tulabula abantu bano era tubakowoola okwewala embeera eno kuba si ya buntubulamu,” Enanga bw’agambye.
Ono alabudde abo bonna ababadde bakola kino okwewala okutabiikiriza eby’obufuzi mu kufa n’ ennyimbe kuba akaseera kano tekasosola era tekasanaamu bukyaayi.
Enanga agamba nti bagenda kunoonya buli muntu eyakoze efujjo ekika kino ewa Nadduli asobole okusimbibwa mu mbuga z’amateeka era avunaanibwe.
Enanga agamba nti abakugu bapoliisi bamaze dda okugenda mu ddwaliro lye Nakasero ewali abamu ku bakoseddwa nga ebiwundu byebafunya byakuyamba nnyo mukunoonyereza kwebaliko nga Poliisi.