23.6 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Poliisi  ezudde  emmundu 10.

Police ,amagye n’ebitongole bya bambega ebirala biri ku muyiggo gw’abantu mukaaga ,ku bigambibwa nti balina kyebamanyi ku by’emmundu ezikozesebwa okunyagulula abantu mu Kampala.

Abantu babiri bebaakakwatibwa okuli Erias Mubiru omugoba wa bodaboda ne Nsubuga Ismail bakwatiddwa n’emmundu 3 mu bitundu by’e Kyebando mu Nansana municipality.

Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga agambye nti okukwatibwa kw’ababiri bano kwakubayamba okuzuula abalala abakyekukumye.

Emmundu endala ssatu ziggiddwa ku bakaramoja ababbi b’ente mu district ye Abim newabaawo abazigu basatu abattidda, ssonga mu district y’e Kotido abakaramoja abakambwe bana bakubiddwa amasasi agabattiddewo n’emmundu bbiri neziboyebwa.

Related posts

Alupo agguddewo ekkolero ly’ebyokunywa eppya ku lw’e Ntebe.

OUR REPORTER

Buloba Parish ejaguzza emyaka 8.

OUR REPORTER

Minisita Kaboyo alabudde abakyala abalera engalo.

OUR REPORTER

Leave a Comment