Omwana asoka ye Ibrahim Kasagga 7, ono yategeezezza poliisi nti yali asomera ku ssomero lya Wonder’s Junior School naye nga tamanyi gye liri ne bazadde be tabamanyi mannya kyokka, omulala Sam Kakooza 12, wabula ng’ono omutwe gulabika tegukola bulungi.

Akola ku nsonga z’amaka ku poliisi y’e Katwe Sarah Nannyunja yategeezezza nti abaana bano baabula mwaka guwedde kyokka kati basiiba ku poliisi.
Sarah yategeezezza nti wewabaawo omuntu yenna amanyi bazadde b’abaana bano atuukirire poliisi y’e Katwe.