POLIISI y’e Luweero eri mu kuwenja bazigu abasse omusomesa, omulambo gwe ne bagusuula ku kkubo.
Omulambo gwa Nathan Sebigulu, omu ku batandisi ba Mulusa Academy e Wobulenzi mu Luweero era ng’abadde musomesa ku Luweero Seed SS guzuuliddwa ku makya ga leero nga guli mu luwonko e Katikamu mu Luweero wamu ne pikipiki ye.

Omulambo gwe gubaddeko enkwagulo nga ssimu n’ensimbi ze abateeberezebwa okumutta baabirese.
Abantu beeyiye mu kitundu kino okulaba omulambo gw’omusomesa waabwe ng’abamu bagamba nti okufa kwe kwekuusa ku nkaayana z’ettaka
Poliisi ezze n’eggyawo omulambo okusobola okunoonyereza.