POLIISI y’e Njeru ng’ekulembeddwamu akulira ebikwekweto byayo mu Njeru, Ego Daniel basazeeko ekikomera ky’Omuzungu ku kyalo Bukaya west mu divizoni y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe okuzuula ekituufu ku bigambibwa nti waliwo abaana abataliiko mwasirizi Omuzungu Omumerika ne bba Denis Acidiri be baasigula okuva mu maka gye baali bakuumirwa.

Daniel Ego ategeezezza nga bwe baafunye amawulire ng’Omuzungu Christine Acidiri ne bba bwe beekobaana n’abantu abalala ne bagyayo n’okusigula abaana abakuumibwa mu maka omulabirirwa abaana abalina akawuka ka mukenenya era abatalina mwasirizi agamanyidwa nga Covenant children’s home ku kyalo Kiryowa e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe.
Polisi yeekebejjezza amaka ga Acidiri wabula ne batasangayo baana n’evaayo. Kyokka baabadde baddayo ate Acidiri ne mukyala we ne bakubira poliisi eddeyo enone abaana ba Tumwesigye.

Acidiri yategeezezza ng’abaana bano bwe bejja bennyini mu maka ga Tumwesigye ne baddukira ewuwe nga bagama nti baali babatulugunya.
Abaana abasatu abaanunuddwa baateekeddwa ku kabangali ya Polisi ne batwalibwa ku Poliisi y’e Njeru. Acidiri ne mukyala we baguddwaako omusango gw’okubonyabonya abaana ku fayiro nnamba SDREF43/21/4/2023.