21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
AmawulireFeatured

President Museveni akungubagidde eyali pulezidenti wa Angola Dos Santos.

Museveni akungubagidde eyali Pulezidenti wa Angola, Jose Eduard Dos Santos eyafudde ku Lwokutaano e Spain (Barcelona) ku myaka 79, n’amutendereza okuba omukulembeze alengerera ewala.

N’ennaku nnyingi, nkungubagira Pulezidenti Jose Eduard Dos Santos eyali pulezidenti wa Angola. Ntuusa okusaasira kwange eri Pulezidenti Joao Lourenco akulembera ensi eyo mu kaseera kano ,eri famire ya Santos n’eri bannansi ba Angola olw’okufirwa omuntu wammwe.

Presidenti Jose Eduard Dos Santos.

Bye yakola bijja kusigalawo okumala ebbaga ppanvu,yali mukulembeze omuteesa ate ng’alengerera wala era ajja kwogerwako mu biseera byaffe nti yaliwo. Mukama amuwummuze mirembe Museveni bye yawandiise ku mukutu gwe ogwa twitter.

Eri Pulezidenti Joao Lourenco wa Angola

Dos Santo yafiiridde mu ddwaaliro lya Teknon Clinic erisangibwa mu kibuga Barcelona e Spain, gy’abadde ajjanjabirwa okumala ebbanga,nga gavumenti y’e Angola yalangiridde ennaku ttaano okukungubagira omugenzi okutuusa lw’anaaziikibwa

Related posts

Mukomye okussa abaana ku mitimbagano nga mukitegedde si baamwe.

OUR REPORTER

Eyawujja omuzeeyi empi omulamuzi agaanyi okumusonyiwa.

OUR REPORTER

Luzira fortebet-Alex Muhangi soccer tour thrills punters.

OUR REPORTER

Leave a Comment