Yonna Kanyomozi ono nga mutunulizi w’abyabufuzi mu gwaganga alabudde pulezidenti Museveni obutagezako kukomyawo baminista be abawangulwa mu kalulu akawedde mu kabinenti gyategeka okufulumya olunaku lwonna.

Ono agamba nti Singa pulezidenti Museveni olonda baminista abawangulwa mu kalulu kabona naddamu okubawa obwa minista, kino kigenda kwonona ekifananyi kya NRM mu bantu n’okulaga nti abalonzi ababasuula bali tebategeera. Baminista abawangulwa mu kalulu kali kabonero akalaga nti tebakozesa bulungi bifo byabwe kutuusa buwereza mubantu, obwa minista bwetagibwa kuweebwa muntu alina ettuttumu mubantu era nga n’abantu bamwagala, olwo lwe bajja okusobolo okutukiriza obuwereza obulungi mubantu, olwo ekibiina kiryoke kifune ettutumu ne gavumenti okwekumira wagulu mubantu

Amyuuka omwogezi w’ekibiina kya NRM Emmanuel Dombo yategezezza nti omulundi guno tusuubira nti pulezidenti Museveni agenda kwekennennya n’okutunulira ennyo abantu bagenda okulonda mu kabineti empya, mmanyi nti agenda kulonda abantu abanasobola okukolera banna Uganda. Yalangirira olutalo kunguzi, tusuubira mu kabineti empya temugenda kubeera balyi banguzi