17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
AmawulireEssanyuFeatured

Pulezidenti Museveni asisinkanye Kyabazinga we Busoga.

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni asisinkanye  Kyabazinga wa Busoga, William Wilberforce Gabula Nadiope IV nebateesa ku ngeri gyebasobola okuzzaamu ebintu bya Busoga ebyali byatwalibwa gavumenti.

Ensisinkano eno ebadde mu maka g’Obwapulezidenti Entebbe ku Lwokusatu era nebakkanya ku ngeri gyebasobola okulaakulanyamu Busoga.

Kinajjukirwa nti ebintu ku bintu bya Busoga mulimu ebitebe bya Disitulikiti wamu n’eggombolola gavumenti byeyatwala oluvannyuma lw’okuwera obufuzi bw’ ensikirano mu 1966.

Okusinziira ku nzimu ku nsonda ezaabadde mu nsisinkano eno, abakulu bakkiriziganyiza ebintu bikomezebwewo mu mpalo.

Kigambibwa nti Pulezidenti Museveni yasiimye Kyabazinga olw’okulaakulanya Busoga ng’ ayita mu kitongole kya Gabula Foundation ewadde abavubuka abawerako obukugu.

Pulezidenti Museveni yagambye nti singa ebintu bino bikomezebwawo era nebikwatibwa bulungi bisobola okuyambako okukyuusa embeera y’abantu ba Kyabazinga.

Oluvannyuma lw’ensisinkano eno katim Obwakyabazinga butaddewo akakiiko akagenda okulirwa omumyuka Asooka owa Katukiro,   Prof Muhammad Lubega,abalala ye  Eng. Patrick Batumbya, Saraha Kurata, Alyosius Gonzaga  n’omubaka wa  Bugabula North John Teira.

Kyo ekiwandiiko ekyafulumiziddwa abakulira ebyamawulire mu maka g’Obwapulezidenti, kiraga nti Pulezidenti yalonze minisita Milly Babirye Babalanda okukwatagana ne Ssaabawolereza  Kiryowa Kiwanuka bakole  ekiwandiiko ku nsonga eno ekinateesebwako kkabineeti.

Related posts

FORTEBET EWADDE EDDWALIRO LY’E JINJA EBY’OKULWANYISA COVID-19

OUR REPORTER

Spice Diana ayabulidde ekibiina kya Kenzo.

OUR REPORTER

NUP  eyajudde ekifo kyebaguze webagenda okuzimba ekitebe kyabwe  e Makerere Kavule.

OUR REPORTER

Leave a Comment