Ku lwange n’abantu abatulugunyizibwa abalala benjogeddeko nabo njagadde okwogera ebibonyobonyo nze ne famire yange bye mpiseemu emyaka 18 ensi emanye era nja kusaba ab’ekitiibwa Pulezidenti ne Kabaka wa Buganda babeeko ekyamangu kyebakolawo.Mu Ssemateeka wa 1995 ennyingo 20 (2), 21(2) , 24, ne 26 n’amateeka g’ensi yonna ku ddembe ly’obuntu , teriiyo muntu akkirizibwa kutulugunya oba okutyoboola eddembe ly’omulala okufaananako abamu ku b’e Mengo bwebatulugunyiza Dokita Kasasa ne famire ng’abakikola beekweka mu Kabaka . Ssebo Pulezidenti buuza Ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka ku byafaayo bya Jjajjawe Aliddeki Kiwanuka eyali yakazibwako erya Namwatulira , Dokita gwe yalabako n’amaaso ge ng’ono batuuka n’okumumwa enviiri ku mutwe n’ebicupa n’atiriika omusaayi n’okumwasiza galubindi ku maaso ng’entabwe eva kuwandiika mu mawulire ge aga Express nti ‘ bambi Katikkiro yaweze amazina amazungu lwakuba tamanyi bambi kugazina’. Baagufuula musango nti Kiwanuka yamenye empisa y’ensi okukozesa ebigambo nga bambi ku Katikkiro wa Buganda.Ebintu bingi ebyokunyigiriza ebirabise e Mengo ebyalabwako Dokita enferi gye yali omusawo akabera abasibe obuyonjo era oyinza okubuuza nti Mengo singa yali efunye Federo ejjirako n’obuyinza obwa Poliisi, Kkooti, n’amakomera, Dokita tebaandibadde nga baamuyungako dda ekisango ne bamukuba mu mbuzi ekogga ne batwala ebintu bye?.Kisoboka kitya nti gavumenti ya NRM ne Kabaka abalwanirira ensi eno emyaka 5 mu nsiko ate kukkiriza abamu e Mmengo okunyigiriza abantu nga Dokita n’abalala abatasobola kwerwanako?.Omulangira Wasajja ne bannyina balemedde ku by’ettaka lya Dokita e Mutungo- Kati emyaka 18 era Wasajja yatwala n’enyumba ya Dokita e Buziga ya buwumbi ku 1000/- wabula Kabaka ne Pulezidenti tebanavaamu mwasi. Mu byafaayo bye Mozambique, Angola, Cyprus ne Kenya waaliyo Mau Mau n’ebibinja ebirala ebyayiwa okutaasa bannansi naye kisoboka kitya abantu okubazza mu kuggyibwako eddembe lyabwe ng’abaalirwanirira batunula.Wano Dokita wasabira ku lulwe ne famire ne banne baayogeddeko,webasabira abakulu bombi ebikolwa bino bikomezebwe nababikolwa balamulwe kubanga bbwa ddene ligambwako nnyiniryo.Ssebo Pulezidenti gwe ne Kabaka , oyo Wasajja mulabika okusiima emirimu gye anti atera okulabwako mu State House naye aliko ebibuuzo ku kujooga abakopi n’emisango gijudde mu kkooti naye awa kifanaanyiki?Dokita n’abalala beetaaga obwenkanya era bino mbiwandise mu buwulize eri Pulezidenti ne Ssabasajja.

previous post