Putin azzizza mu kyama akulira bamasinale be mu Ukraine n’amusaba aleke kumuvaamu ne bakutula ddiiru n’adda mu ddwaniro emmundu n’eseka buto.
Bino biddiridde omuduumizi wa bamasinale ba Wegner owokunnsalessale nti nga 10 May okutuuka nga Pulezidenti wa Russia, Vladimir Putin tamwongedde mmuudu z’amaanyi, agenda kuva mu lutalo lwa Ukraine.
Putin eyatiddemukko olw’abamasinale b’asibiddeko olukoba okulaga bwe bagenda okuggya amagye gaabwe mu kibuga Bakhmut kye bamaze ebbanga nga balwano okusiguukululamu nga Ukraine , yayiye entuumu z’ebyokulwanyisa mu kibuga ekyo mwe yatalidde ne bbomu zisabyelo ezimanyiddwa nga phosphorus bombos.
Abatuuze naddala akakadde abaabulwa agadduka, abalala baagaana bugaanyi ne basalawo oba kufa bafiire mu muka gaabwe.

Bbomu ekika ekyo zivaamu omuliro omungi oguddukira mu mpewo nga gy’edda nagwo gye gudda.
Ekibuga ekyo kumpi kyonna kyakubwa ebizimbe ne bigwa kyokka Putin akyalemeddwa okukiwamba olw’enzimba ya ‘go down’ezirimu oba biyite ebisenge ebiri wansi mu bizimbe ebyazimbibwa Russia bwe yali ekyatwala Ukraine mu mukago gwa Soviet Union okwekwekangamu ne bbomu za nukiriya.
Okusinziira ku mawulire, aba Wegner okusooka okwecanga baasoose kulaga ng’eggye lya Ukraine libafunzizza ng’ate emmundu zibakendeddeko ne basalawo bave mu kibuga ekyo Ukraine ekyeddize kyonna nga bwe baakisanga nga tebannakirumba mu july w’omwaka oguwedde.
Obukulu bw’ekibuga ekyo, ly’ekkubo Putin w’alina okuyita okulumba ebibuga ebirala okuli Kramatorsk ne Sloviansk ebisigaddeyo okusalako essaza eryo erisingamu abantu aboogera olulimi lw’e Russia.