22.4 C
Los Angeles
June 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Putin asindise nukiriya ku lubalama lwa Ukraine.

Putin mu kwogera kwe ku Lwomukaaga, yalidde mu ttama n’agamba nti azze alabula America obutatabaaza byakulwanyisa byayo mu Bulaaya naye ng’alinga afuuyira endiga omulere naye kwe kusalawo okusindika ebibye ku lubalama lwa Ukraine bakimanye nti bwe batakoma kuwa Ukraine buyambi, ajja kugitulisa.

Kuno kwe kusalawo okukyasinze okukankanya Ukraine ne banywanyi baayo omuli ne America okwongedde okulaga nti Putin mwetegefu okukola ekintu kyonna okuwangula olutalo lw’e Ukraine.

Kiddiridde emirundi egy’enjawulo Putin gy’azze ng’alabula nti America ne banne bwe batakomya kuwa Ukraine byakulwanyisa, naye waakuwalirizibwa akozese ebyokulwanyisa bya nukiriya.

Guno gwe mulundi ogusoose okuva mu 1990, Russia okufulumya ebyokulwanyisa bya
nukiriya okubitwala mu ggwanga eddala newankubadde Putin yannyonnyodde nti kino tebakikoze kwezza buyinza mu Belarus naye baalabye nga ky’ekifo ekituufu aw’okukubira omulabe abafuukidde akayinja mu ngatto olw’okuba alina abamuwaga.

Yagambye nti baatandise ne nukiriya omutonotono ayinza okubawangulira ennwaana ez’enjawulo so si biri ebinene ebizikiriza ebibuga naye ssinga America eneesigala yeesisiggiriza n’ebinene baakubikozesa.

“Tewali kyanjawulo nnyo kye tukoze. Eky’okutambuza ebyokulwanyisa nga bino okubitwala mu nsi endala kyabulijjo kubanga America ezze ekikola okumala emyaka n’ebisiibo nga babitwala mu mawanga ge bakolagana nago. Naffe tusazeewo okukola kye kimu nga tukikola mu ngeri egoberera amateeka g’ensi yonna.” Putin bwe yagambye.

Yayongeddeko nti okutandika ne wiiki eno, eggye lye lya kutandika okutendeka
bakomando abagenda okukozesa ebyokulwana bino ng’okuzimba ebifo we biterekebwa kwawedde dda.

AMERICA ERABUDDE

America, eggwanga eddala likirimaanyi erikola ebyokulwanyisa bya nukiriya, lirabudde nti Russia ky’ekoze kimenya mateeka ga nsi yonna era kiraga nti Putin alina pulaani okutta bannansi ba Ukraine bonna abamalewo.

Bawadde amagezi nti NATO erina okutuula okusalira Russia amagezi nga tannateeka nsi yonna mu katyabaga.

Putin w’atuukidde okulangirira bino, nga Pulezidenti wa Ukraine, Volodymyr Zelenskyy yaakamala okukoowoola banywanyi ba Ukraine okugyongera ebyokulwanyisa era abadde yaakateeka omukono ku ndagaano n’amawanga 18, ageeyamye okuwa Ukraine ebikompola ebisukka mu kakadde kamu mu 2024 eyongere okwerwanako ku Russia eyagirumba.

Related posts

Aba bizinesi eziremedde ku muggalo baKukkulumidde SSABALWANYI M7

OUR REPORTER

President Museveni asabye banna NRM okunyweza obumu bawangule obululu obuddibwamu

OUR REPORTER

Amerika ekutte Misiri n’ebikompola 40,000 by’ebadde etegeka okuwa Putin.                                               

OUR REPORTER

Leave a Comment