BANNAKATEMBA bakungubagidde munnaabwe eyafudde ekirwadde kya kookolo. Ramadhan Kaggwa, yaziikiddwa ku Lwomukaaga e Mukoko Masaka wakati mu biwoobe n’okwaziirana okuva mu booluganda n’emikwano.
Kaggwa abadde munnakatemba ow’erinnya era omu ku badayirekita mu kibiina kya Zubairi Family, abazannya omuzannyo gwa Namujinga ku Bukedde TV. Azannye emizannyo egyakazibwako Ebinnayuganda mingi ku ttiivi ezenjawulo.

Mu gimu ku mizannyo gyino egimuwadde etuttumu mulimu, Abasajja baka, Abakazi baagala ki n’emirala. Sserunkuuma Moses Bbosa nga naye dayirekita mu Zubairi family yagambye nti omugenzi yabadde ssaabawandisi w’ekibiina ekigatta abazannyi ba ffirimu z’Ebinnayuganda. Yagambye nti yatandika okumumanya era ne bakwatagana mu kuzannya ffirimu mu 2002. Yamwogeddeko ng’omusajja abadde omugezi ennyo ate omuntumulamu mu buli ky’akola.
Bbosa yagambye nti wadde Kaggwa agenze, ekibiina kyabwe kisigadde kinywevu era kigenda kugenda mu maaso n’okuweereza eggwanga mu Binnayuganda.