RDC wa Kayunga Hajji Moses Ddumba alabudde abagagga abasinziira mu bibuga ne bagula ettaka nga ab’obuyinza mu kitundu tebamanyi n’agamba nti anaddamu okukikola ajja kuba aguze mpewo.
Hajji Ddumba agambye nti enkola eno y’eyongedde enkaayana wakati wa bannanyini ttaka n’abeebibanja e Kayunga Kubanga bangi ku batunda ettaka mu nkola eno libeerako abasenze.
Alagidde nti buli ayagala okugula ettaka asookere mu ofiisi ya RDC asobole okulambikibwa ku by’ateekeddwa okugoberera n’okumunnyonnyola embeera entuufu oba ku ttaka kuliko abasenze oba tekuli mu kifo ky’okumala gasasula ne bafiirizibwa kubanga etteeka likuuma bulungi abeebibanja.
Agambye nti kino kijja kukendeeza enkaayana n’okugula empewo kubanga waliwo abaaguze ettaka kyokka abasenze abaliriko ne balemesa abantu abo okulirinnyako okulikozesa.