Bino byogeddwa Rev. Fr. Emmanuel Mugagga Bwanamukulu w’ekigo ky’e Naluggi mu ssaza lya Kiyinda – Mityana bw’abadde akulembeddemu ekitambiro kya Mmisa ku Ssande mw’alagidde obwennyamivu olw’abantu abayitiridde okusaanyaawo obutonde naddala nga balimira mu ntobazzi, okutema ebibira okuyitiridde n’emize emirala egigwa

mu kkowe eryo. Fr. Mugagga yagambye nti Katonda bwe yatonda ensi, buli kimu yakikola nga kirungi era nga kirina kye kiyamba ensi omuli emigga, ebibira mw’obitwalidde nga ng’omuntu abyonoona aba akola kibi ng’alina kugenda ne yejjusa kubanga aba aleese okubonaabona eri abantu abawerako.
Ono yakuutidde abantu okweddamu, bongere okusimba emiti olwo n’ebbugumu eriyitiridde ensangi zino likendeere.
Yakuutidde abakkiriza okweyambisa ekiseera kino eky’ekisiibo okwekuba mu kifuba, beenenye ebibi byabwe ne Katonda asobole okubasonyiwa.