Akulira ebyokusinza n’okutendereza mu bulabirizi bwe Namirembe, Rev. Samuel Muwonge akuutidde abakurisitaayo n’abantu bonna okulongoosa emitima gyabwe nga bayita mu kigambo kya Katonda.
Akiggumiza nti buli muntu akola ebyesittaza oba ebiwuniikiriza ensi kiba tekivudde mu bbanga naye biba bivudde mu mitima gyabwe sitaani gy’aba yeefuga.
Okubuulira kuno Rev. Muwonge yakukoledde ku kitebe kya Vision Group ekikulu e Lugogoo mu kusaba okutegekebwa Abakristaayo okubeerayo buli Lwakusatu olusooka mu mwezi, n’agamba nti n’ebizibu ebisinga okutawaanya Uganda mu kiseera kino biva ku bantu abaacaafuwala emitima, omuli abakulembeze abakudaalira be bakulebera, obuli bw’enguzi, obwenzi obutasalako, obubbi, obuwemu n’okwogera ebiswaza mu lujjudde.
Asabye Bannayuganda okubikkulira Katonda emitima gyabwe aginaaze, era agitukuze kubanga ekyatulwa akamwa kye kiraga ebiri ku mutima gw’omuntu.
Mu kusaba kuno, Abakristaayo ba Vision Group baaleese kkwaaya ya ‘Zions Choir’ okuva mu Busumba bw’e Kireka mu Kkanisa ya St. Stephens Kireka abaayimbye ennyimba ezaacamudde ennyo abasabi mu kusaba okwabaddewo mu biseera by’amalya g’ekyemisana.
Balonze obukulembeze obujja
Mu kusaba kwe kumu Rev. Muwonge yakuliddemu okulondesa Abakristaayo obukulembeze obupya oluvannyuma lw’emyaka ena egiragirwa mu Kkanisa ya Uganda mwe baasaliddewo okuzzaako omukubiriza abaddeko, Samuel Kasirye ng’amyukibwa Agnes Kabacunguzi, omuwanika ye Hildah Kamukama, omuwandiisi ye Mary Karugaba, owa Mission ye Ronald Ssebutiko, omukebezi omukulu ye Oliver Mutatini kw’ossa abakiikirira ebiwayi bya Vision Group eby’enjawulo.