Nnamungi w’omuntu yeeyiye ku kasozi Kinyasano ku mukolo gw’okutuuza omulabirizi Ow’omukaaga ow’Obulabirizi bwa North Kigezi, Rt. Rev. Onesmas Asiimwe.
Omukolo gukulembeddwamu Ssaabalabilizi wa Uganda, Dr. Samuel Kaziba Mugalu eyasabye omulabirizi okukola ennyo okulwanyisa sitaani agenda asensera amakanisa naddala mu bavubuka.
Amukuutidde okukola ennyo okulaba ng’ettaka ly’ekkanisa libeerako ekikolelwako okuleeta enkulaakulana.
Eyaliko Ssaabalabirizi wa Uganda, Luke Orombi ategeezezza nga Uganda bwe yeetaaga okusabira ennyo n’asaba abazadde okulaba nga balwanyisa omuze ogwezinze mu baagala okuleeta wano obugwenyufu

Omumyuka wa pulezident,i Rt Major Jessica Alupo nga y’akiikiridde omukulembeze w’eggwanga. Mu bubaka bw’abawadde asabye bannaddiini okwongera amaanyi mu mu kulwanyisa obwavu nga beetandikirawo pulojekiti n’abasaba okubeera n’omutima n’omutima n’empisa mu baweereza.
Omulabirizi Asiimwe yeeyamye okukulaakukanya amakanisa kubanga kye kintu kyokka ky’ayagala okulaba nga gakulaakulana ne mundabika.
Omukolo gwetabiddwako omumyuka wa katikkiro wa Uganda asooka, Alitwala Kadaga, Dr. Chris Baryomunsi, Maj. Gen. Jiim Muhwezi, bannadiini ab’enjawulo, bannabyabufuzi n’abalala.