21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
AmawulireFeatured

 Rosemary Sseninde agugumbudde abakozi ba Gavt. obutasomesa bantu ku nteekateeka za gavumenti ez’enkulaakulana.

Ssaabakunzi w’ekibiina kya NRM ,Rosemary Sseninde agugumbudde abakozi ba gavumenti abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba ku kumanyisa abantu ba wansi kunteekateeka za gavumenti ez’enkulaakulana okuli eya Myoga ne Parish Development Model (PDM).

Bino Sseninde abyogeredde Buwama mu disitulikiti y’e Mpigi bw’abadde asisinkanye abakyala ba NRM abeegattira mu bibiina by’obwegassi n’abasaba okwettanira enteekateeka za gavumenti ez’ebyenkulakulana basobole okuziganyulwamu era n’abawa obukadde bwa ssente bubiri zibayambeko okwekulaakulanya.

Olukungaana luno olubadde lugendereddemu okuteekateeka abakyala b’ekibiina kya NRM okusobola okwetegekera okulonda akalulu k’abakyala akabindabinda.

Sseninde asomesezza abakyala ku nteekateeka ya gavumenti eya PDM n’asaba ba RDC okuteeka ku bakozi ba gavumenti akazito okulabang’ abantu bonna benyigira mu nteekateeka eno beggye mu bwavu.

Omuteesiteesi w’olukungaana luno, Frank Sserubiri yennyamidde olw’ayabakozi ba gavumenti abakola emirimu gyabwe engeri ya gaddibengalyen’asaba aboobuyinza babakangavvule kubanga be baviiriddeko okuvumaganya gavumenti.

Ssentebe w’ekibiina kya Myoga mu ggwanga, Robert Kizito yeyamye okutalaaga disitulikiti ez’enjawulo ng’ asomesa abavubuka n’abakyala kunteekateeka za gavumenti, okulaba nga’ abantu bakyusa ebyenfuna byabwenasiima Sseninde olw’okubayambako mu nteekateeka eno.

Related posts

Sheilah oluvanyuma avuddemu omwasi.

OUR REPORTER

Fortebet  thrills Mayuge, Malaba, Busia, Namayingo, Tororo with priceless goodies

OUR REPORTER

Omukazi akwatiddwa n’enjaga.

OUR REPORTER

Leave a Comment