21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Russia ekubye ekitundu kya Kharkiv abantu 6 ne bafa.

Pulezidenti wa Ukraine ,Volodymyr Zelensky avumiridde a magye ga Russia olw’okukuba ekitundu kya Kharkiv abantu mukaaga mwe bafiridde ate abalala 16 ne bafuna ebisago eby’amaanyi.

Yagambye nti okutemula abantu ba bulijjo kikolwa kya butujju.Zelensky agambye nti waliwo ekizimbe Russia ky’ekubyeko miizayiro kyonna nr kiggwaayo mu bulumbaganyi obutaabaddeko nsoga era abantu ba bulijjo ne bafiira obwemage n’agamba nti kino kyongera kulaga nti Russia enafuye nga tekyasobola kukuba magye ga Ukraine n’esalawo kutta bantu ba bulijjo.

Tetujja kusonyiwa bantu bano, tujja kwesasuza ‘Z elensky bwagambye ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Telegram.

Mukiseera kino Russia yeefubiridde okuwamba ettundutundu ly’omu Bukiikaddyo ne Buvanjumba bwa Ukraine ng’esinze kukozesa nkola ya kukasuka mizinga mu bibuga olwo n’eryoka esalako ekitundu kyokka nga ne Ukraine ebadde ekyusizza mu mwaana ng’ekozesa eggye lya ‘Special force’ erisannyalazza ennyo Russia mu kitundu kye.

Related posts

Police ekutte omukazi  agambibwa okusalako bba ebitundu by’ekyama.

OUR REPORTER

Abantu 4 bakubiddwa amasasi nga entabwe evudde ku mukazi.

OUR REPORTER

Ssentebe wa LC II e Luwero yasoose kulabula babbi nga tebannamwokera mu nnyumba ne famire ye

vega

Leave a Comment