Enduulu n’emizira bisaanikidde ekisaawe kya Moi International Stadium e Kasarani mu Nairobi, William Ruto bweyabadde alayizibwa Ssaabalamuzi Martha Koome ku bwapulezidenti ku Lwokubiri oluvannyuma lw’okukakasibwa kkooti.
Bweyabadde ayogerako eri abantu abakung’aanye ono abyongeddemu ssupu bweyategeezezza nti akavubuka akava mu kyalo kati keeka Pulezidenti ka Kenya olwo enduulu neebula okutta abantu.
Wabula munne gweyangula Raila Odinga omukolo guno yaguzize nga agamba nti obuwanguzi bwalimu ebirumira.
Kinajjukirwa nti Ruto yawangula Odinga eyalina ebitundu 48.8 ku buli kimu n’ebitundu 50.5 ku buli 100 ekintu ekyamuleetera okuddukira mu kkooti nga agamba nti waliwo ebyali bitakwatagana.
Ruto yakwasiddwa Ssemateeka wa Kenya awamu nekiso nga akabonero akalaga okukyuusa obuyinza nga bino bimuweereddwa abadde Pulezidenti Uhuru Kenyatta.
Bweyabadde akutte Bayibuli mu ngalo, Ruto atemera mu myaka 55 alayidde okukuuma Ssemateeka.
“Okuyimirira wano leero bujulizi obukakasa nti Katonda gy’ali. Njagala okwebaza Katonda nti munnakyalo asobodde okufuuka Pulezidenti wa Kenya,” Ruto bweyannyonnyodde.
Ruto yeeyamye okukwatagana ne Odinga awamu n’abalala beyavuganya nabo basobole okutwala Kenya mu maaso era ono asise mu mukono gwa Kenya bwebabadde tebalina Kambugu nga bwekyeyolekedde mu kalulu akawedde.
Mu ngeri yeemu omumyuka wa Pulezidenti omuggya Rigathi Gachagua naye yalayiziddwa nategeeza nti bannakenya bafunye eddembe era nebyokukijjanya abantu abamu olw’okukolagana ne Ruto nabyo bikomye.
Okusooka wabaddewo akasambattuko oluvannyuma lw’abantu okwenyiga nga bagezaako okuyingira mu kisaawe era wano abantu abawera 8 bafunye ebisago ebyamaanyi.
Omukolo guno gwetabiddwako bapulezidenti abaweze 20 balamba okuva mu mawanga g’ Africa ag’enjawulo era omukolo gwatandise nakusaba okwakulembeddwamu Bisoopu Matk Karuiki.
Kati Kenyatta awummudde emirimu gy’Obwapulezidenti oluvannyuma lw’okumalako ebisanja bye ebibiri era bwebaali mu kalulu yawagira Raila Odinga mu lwattu nga agamba Ruto tagwanidde kubeera Pulezidenti.