Munnansi wa Burundi era omu ku babaka ba parliament y’omukago gwa East Africa eya East African Legislative Assembly Joseph Ntakarutamana alondeddwa nga sipiika wa parliament eno omuggya ku kisanja kya myaka 5.
South Sudan ne Burundi zezibadde zivuganya ku kifo kino.
Uganda ,Rwanda ,Kenya ne Tanzania zaakulemberako dda ku kifo kino, nga sipiika abaddeko abadde munnansi wa Rwanda Martin Ngoga.
Okulondebwa kwa sipiiika munnansi wa Burundi Joseph Ntakarutamana kukubiriziddwa kalaani wa parliament eno Alex Obatre.