Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye obuweereza bw’eyali Ssenkaggale wa DP Dr. Paul Kawanga Ssemogerere, gwagambye nti waakusigala mu byafaayo eby’ensonga mu Uganda ne Buganda ng’ate akulembeza mirembe mu buli ky’abadde akola.
Mu bubaka Maasomooji bwatisse Omulangira David Kintu Wassajja mu kusaba okw’okwebaza Katonda olw’Obulamu bwa Dr.Kawanga mu Lutikko we Lubaga, agambye nti Omugenzi alijjukirwa olwokulwanirira Buganda mu mbeera zonna.
Tewali kubuusabuusa obukulembeze bw’eggwanga lino bwandibadde bwanjawulo nnyo, singa bwatambulira ku musingi gweyatema.
Asabye abakulembeze abalala okulabira ku Ssemogerere abadde omukulembeze eyegombesa.
Omutanda agambye nti Dr.Paul Kawanga Ssemogerere yateeka ettofaali ddene kukuzzaawo obwakabaka bwa Buganda.
Ssemogerere ye yali ssentebe w’enteekateeka zonna ez’amatikkira g’Omutanda mu 1993.
Gyebuvuddeko Nnyininsi Kabaka Ronald Mutebi II yamusiima n’amuwa ejjinja ery’omuwendo.Ejjinja lino Ssemogerere yaliwaayo eri bannabyabufuzi okubakuutira okukola n’amaanyi nga teberabidde nnyabwe Buganda, ate n’okukulembeza obumu mu buweereza bwabwe.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ng’akiikiriddwa omumyukawe asooka Owek Dr. Prof Haji Twaha Kawaase Kigongo, yeebazizza Omugenzi Paul Kawanga olw’okulafuubanira obwetwaze bwa Uganda, kyokka natakoma awo naalera bbannabyabufuzi abawerako.
Ssabaminister wa Uganda Robina Nabbanja Musafiiri ku lwa government eyaa
wakati agambye nti okufa kwa Paul Kawanga Ssemogerere kuwadde government ebyokuyiga bingi,era ensobi zonna ezikoleddwa zigenda kutereezebwa.
Okusaba kumo kukulembeddwamu Ssaabasumba wa Kampala Paul Kawanga Ssemogerere.
Munnamagye eyagannyuka Col Dr Kiiza Besigye agambye nti okwekyusa kw’abakulembeze mu Uganda kyekizibu ekittattanye ebyobufuzi,naalabula nti awatali kukyuusa bukulembeze mu mirembe mu Uganda terina gyeraga.
Loodi meeya wa Kampala Ssalongo Erias Lukwaago yebazizza Dr Ssemogerere Okulwana okuggyawo emisanvu ebibiina by’Obufuzi nebiddawo mu Uganda, yadde nga mu kiseera kino byasibwa emiguwa tebyetaaya.
Namwandu Prof Germina Namatovu Ssemogerere agambye nti bba abadde musajja asonyiwa, era nga afudde ayagala nnyo Uganda efune ku nfuga ya federo, eve mu mbeera embi mweri.
Kulwa Democratic Party Mary Babirye Kabanda agambye nti Omugenzi Paul Kawanga Ssemwogerere abadde muwi w’amagezi ow’ensonga, era aludde nga ayayaanira obuweereza obutali bwa bukuusa.
Mu kusooka omubiri gwa Dr. Paul Kawanga Ssemogerere gutuusiddwa ku Lutikko ku ssaawa munaana ez’emisana wakati mu mizira okuva eri banna DP ne Band ya police.
Ng’ekitambiro kya mmisa kiwedde, ebibiina by’obufuzi byonna awatali kusosolwamu bitadde ebimuli ku ssanduuke y’Omugenzi.
Omubiri gwa Dr. Paul Kawanga Ssemogerere gutwaliddwa e Nattale-Bufulu-Nkumba mu town council ye Entebbe, gyagenda okuziikibwa olunaku olw’enkya nga 21 November, 2022.