17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Ssaabasajja Kabaka asiimye emirimu gy’omugenzi Kaggo  Nakibirige.

Ssaabasajja Kabaka, Ronald Muwenda Mutebi II asiimye emirimu gy’abadde omwami we ow’essaza Kyaddondo omugenzi Kaggo Agnes Nakibirige Ssempa.

‘Twegatta n’abantu baffe okukungubagira omukyala akoze emirimu egy’ettendo mu ssaza lyaffe.

Mu buweereza bwe tutambudde naye olugendo luwanvu, era akoze ky’amaanyi okugatta abantu bakulembera.

Alaze eky’okulabirako ekirungi nti abakyala basobolera ddala okukulembera obulungi’.

Kaggo Nakibirige aziikiddwa olwaleero ku Mmande ku biggya bya bajjajjaabe ku kyalo Ssanga  Ssemuto Road.

Obubaka bwa Ssabasajja Kabaka busomeddwa Omumyuka asooka owa Katikiro wa Buganda era minisita avunaanyizibwa ku ntambuza y’emirimu ne Tekinologiya  mu Bwakabaka Owek Prof.  Twaha Kaawaase Kigongo.

Katikkiro Charles Peter Mayiga obubaka bwe busomeddwa omukubiriiza wa Buganda, Owek Patrick Luwaga Mugumbule.

Ssabawolereza wa Buganda era minisita wa gavumenti ez’ebitundu Owek Christopher Bwaniika, yeyanzizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw`okubeera maasomoogi  alabira ewala nga alonda abaweereza be.

Abaami ab’amasaza mu bubaka bwa bwe obusomeddwa Pokino Jude Muleke, omugenzi bamwogeddeko ng’abadde omuweereza ayagala ennyo Kabaka we, era akoleredde ennyo Obwakabaka bwe okutuusa lwafudde.

Abaana b`omugenzi nga bakulembedwamu Ruth Nankanja Mukiibi, beyanziiza Ssabasajja Kabaka olw`okusiima nawa maama wabwe obuvunanyizibwa obw`okulamuliraako essaaza lye erye Kyadondo, omulimu gwakoze n’amaanyi.

Okuziika kuno kwetabiddwako abakungu okuva mubwakabaka okubadde Owek Christopher Bwanika ssabawolereza wa buganda, Owek Prosperous Nankindu  Kavuma, omukungu kyewalabye Male, minister Wabulungi bwansi nobutonde Owek Hajati Mariam Mayanja Nkalubo, Abaami ba Kabaka abamasaza , ssenkulu wa CBS omuk.Michael Kawooya Mwebe banabyabufuzi abenjawulo n’abalala.

Kaggo Agnes Nakibirige Ssempa wafiridde nga aweza emyaka 68, era kunsi aleseeko abaana bana wamu nabazukulu.

Owek.Agnes Nakibirige Ssempa eyafudde ekibwatukira, yaliko omwami w’egombolola ye Nangabo, omumyuka wa Kaggo, w’afiiridde nga yabadde Kaggo atwala essaza lya Kyadondo.

Related posts

FORTEBET ROCKS IGANGA, MAYUGE, MAGAMAGA WITH CHRISTMAS GOODIES

OUR REPORTER

FORTEBET PAINTS MUKONO, KATOSI WITH AMAZING FREEBIES

OUR REPORTER

FORTEBET-ALEX MUHANGI SOCCER TOUR FIRES UP JINJA

OUR REPORTER

Leave a Comment