Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naatonera abantu be abawangaalira ku bizinga bye Ssese eryato erya Yingini okusobola okubayambako ku kizibu kye ntambula.
Entambula eno ebakwasiddwa Charles Peter Mayiga ku Lwokusatu nga yagikwasizza omwami w’essaza, Kweba Augustine Kasirye ku mukolo ogubadde ku mwalo gwe Mwena.
Abakulira ekitundu kino Katikkiro Mayiga abasabye eryato lino okulikuuma obulungi nokulirabirira lisobole okuwangaalako n’okuganyula abantu b’ekitundu kino bakulaakulane.
Kinajjukirwa nti Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka bweyali ajaguza amatikkira ge ag’emyaka 25 mu 2018 yasuubiza abantu b’ e Ssese eryato erinabagatta ku bizinga ebisoba mu 80 mu kitundu kino era omulimu negukwasibwa ekitongole ki Buganda Land Board okulaba nti gutuukirira.
Omwami wa Kabaka e Ssese. Kweba Augustine Kasirye yeebazizza Nnyinimu era nakakasa nti eryato ligenda kubayambako nnyo okwanguya emirimu gy’embuga mu bantu abali ku bizinga byessaza omuli Nkese, Buggala, Kkuye, Bufumura Buuvu, Bukasa nebirala.
Mu ngeri yemu Kamalabyonna asisinkanye abaami beggombolola omusanvu eziri ku bizinga bino, abaseesa n’abaami bakabaka abalala nabalambika ku nsonga ez’enjawulo.
Katikkiro asinzidde mu nsisinkano eno naalabula abantu abakyagaanye okukkiriza nti Buganda erina omugabo ku Uganda nabasaba okusuula endowooza eno.