14.6 C
Los Angeles
December 4, 2023
Image default
AmawulireEssanyuFeatured

Ssaabasajja Kabaka yazimbidde ab’e Kkooki amayumba .

Beene yasiimye naazimbira abantu abeetaaga okubeerwa mu Ssaza lye Kkooki ennyumba ez’omulembe okusobola okukyuusa embeera zaabwe wansi w’omukago gw’ Obwakabaka n’ekitongole kya Habitat for Humanity.

Omukolo gw’okukwasa ennyumba abantu bano gwakoleddwa Minisita w’Ettaka Obulimi n’obutondebwensi mu Bwakabaka,  Owek .Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja e Kkooki.

“Omulimu guno tetwaze kusomooza be Kooki, tugukoze mu masaza gonna mu Buganda era tukyagukola kubanga mulungi. Mu Nnamutaayiika gyetugoberera Ssaabasajja yasiima okulaba nti embeera z’abantu tuzitumbula,  twagala okulaba nga mulina amazzi amayonjo, zi kabuyonjo,” Minisita Nkalubo bweyagambye.

Owek. Nkalubo yakunze abantu okulaba nti bafuna emmere gyebalya nga balima amatooke awamu n’emmwaanyi okusobola okwongera okwekulaakulanya, Buganda esobole okudda ku ntikko.

Minisita Mayanja  yasabye Abakooki okukuuma Obutondebwensi beewale okutema emiti n’okusanyaawo entobazi nabasaba bakuume ennyanja eri mukitundu kino kuba kino kya bugagga gyebali era ejja kubayambako nnyo okwongera ku bungi bw’ enkuba gyebafuna.

Mu bakwasiddwa ennyumba kuliko, Mukyala Namayanja Janat owokukyalo Kigayaza mu Gombolola ye Buyamba, ng’ono yali asula mu kifulukwa n’abaana be ne Hanifah Nakafeero ku kyalo nsonso.

Akwanaganya abantu ba Kabaka e Kkooki,  Getrude Ssebuggwawo yeebazizza Beene olw’enteekateeka ez’enjawulo omuli okubajjanjaba endwadde, okuweerera abaana awamu n’okubazimbira ennyumba.

“Bino byetwagala, omuntu ayagala abantu be byakola so si ntalo nakuyomba. Maama twagala okwebalize Ssaabasajja ffe nga ab’e Kkooki okutuwa omukisa netufuna ku mayumba nga gano,” Ssebuggwawo bweyannyonnyodde.

Omu ku baganyuddwa mu nteekateeka eno, Namayanja Janet yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’obuyambi buno nategeeza nti embeera gyeyalimu yali mbi nnyo naye kati asobola okweyagala nga omuntu omulala yenna.

Related posts

Isabirye akubirizza abazadde.

OUR REPORTER

Ababuulizi na bayizi bakubiddwa emiggo kubulubuganyi obwabadde ku Grovers wilcox  school of mission.

OUR REPORTER

Emmotoka esaabadde abantu 4 ku luguudo lw’Entebbe.

OUR REPORTER

Leave a Comment