23.6 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
AmawulireEssanyuFeatured

Ssaabasumba Ssemwogerere akuutidde bannayuganda okukola ennyo.

Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala,Paul Ssemwogerere akuutidde bannayuganda okufuba okukola ennyo basobole okweggya mu bwavu kubanga omuntu omwavu tasobola kubeera mu bulamu obulungi era kijja kumuzibuwalira okuyingira eggulu.

Ssaabasumba bino abyogeredde mu kigo ky’e Naddangira mu tawuni kkanso y’eKakiri mu disitulikiti y’eWakiso ekigo kino bwe kibadde kijaguza emyaka 113 bukya kitandikibwawo.

Ssaabasumba yawadde abaana 400 essaakalamentu lya kofirimasiyo ate n’agatta emigogo gy’abagole esatu mu mizira egy’amaanyi okuva mu Bakristu.

‘’Yesu bwe yagamba nti’’ abantu abaavu beesiimye’ yali tategeeza baavu mu mubiri,yali ategeeza abaavu mu mwoyo.Omuntu kikikakatako okubeera n’eby’obugagga naye nga tebikusingira Katonda.

‘’Katonda yakuwa emikono n’amagulu ebisobola okukuyamba okugaggawala’’ Ssaabasumba bwe yagambye.

Related posts

Bbaasi  ya UPDF egudde ne yeefuula mu kikko.

OUR REPORTER

Eyali agezaako okukukusa omuwala atanneetuuka asindikidwa e Luzira.

OUR REPORTER

Ssaabasajja asiimye obuweereza bwa Dr.Paul Ssemogerere.

OUR REPORTER

Leave a Comment