17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Ssaalongo atemye Nnaalongo ng’amuteebereza okuganza amusajja omulala.

Ssaalongo avudde mu mbeera n’atema Nnaalongo we, gw’alina abaana munaana ng’amuteebereza okuganza amusajja omulala. Alowoozezza nti amusse ne yeewa obutwa obumusse.
Ekikangabwa kino kibadde ku kyalo Kyakanyomozi mu ggombolola ya Kaliisizo Rural e Kyotera, Ssaalongo Moses Musoke bw’abase ejjambiya n’atema mukaziwe Nnaalongo Josephine Nakayiwa, omusawo w’ekinnansi nga mu kiseera kino apoocera mu ddwaaliro lya Kisa Medical Center e Kaliisizo.
Kigambibwa nti, Musoke aludde ng’alumiriza Nakayiwa okuganza omusajja eyagenda mu ssabo okumujjanjaba.

Abadduukirize nga bakulembeddwa ssentebe w’ekyalo baddusizza Nakayiwa mu ddwaaliro ne batandika okuyiga Musoke.
Kyokka baamusanze amaze okunywa obutwa ne bagezaako okumuddusa mu ddwaaliro e Kaliisizo n’afa nga batuuka ku ggeeti!
Nakayiwa g’ali ku kitanda yeegaanye eby’okuganza omusajja omulala n’agamba nti bba abadde amububira nnyo.

Margaret Nakakawa amujjanjaba ategeezezza nga Musoke bwe yasoose okumukubira essimu n’amutegeeza nti obwenzi bwa mutoowe bumutamye era agenda kumutema amutte n’omusiguze naye amale yette era tewaasiye kiseera ne bamukubira essimu ng’amutemye.
Alex Tukola omusawo mu ddwaaliro lya Kisa Medical Center yategeezezza ng’embeera ya Nakayiwa bw’egenze erongooka

Related posts

Obutakkaanya wakati wa Ssaabalamuzi Dollo ne Ssaabaminisita Nabbanja bugonjooledwa.

OUR REPORTER

Ababuulizi na bayizi bakubiddwa emiggo kubulubuganyi obwabadde ku Grovers wilcox  school of mission.

OUR REPORTER

Ddi abafumbo lwe batekeddwa okuzza ku mwaana.

OUR REPORTER

Leave a Comment