Omubaka wa Ppaapa mu Belgium eyawummula, Ssabasumba Dr. Augustine Kasujja, asabye bannayuganda okukomya okusaagira mu nsonga z’ebyobulamu bweba baagala okulaakulana.
Ssaabasumba Kasujja bino yabyogeredde Mawogola mu ggombolola ya Ssaabaddu Mateete mu ssaza lye Mawogola ku Mmande bweyabadde atongoza enteekateeka y’okugaba omusaayi.
Dr Kasujja asinzidde wano nakubirizza abantu b’Omutanda mu Ssaza lino okwenyigira mu nteekateeka eno kubanga yeyoka ettalimu kusosola mawanga, eddiini wadde ebibiina by’obufuzi .
Ono mungeri ey’enjawulo yebazizza Beene olw’okusiima abantu be okwenyigira mu nkola y’okugaba omusaayi wamu nokwenyigira mu by’obulamu nekigendererwa ky’okutaasa obulamu kuba abantu abalamu bebasobola okulaakulana.
Omwami wa Kabaka ow’Essaza Mawogola, Muteesa Muhammad Sserwadda, akkikaatirizza nti kati obujjumbize n’obuweereza tebikyapimirwa ku bigambo, wabula ebikolwa.
Ye Ssenkulu wa Kabaka Foundation, Omuk. Edward Kaggwa Ndagala, asiimye Bannamawogola olw’obujjumbize bwe balaze mu kuwaayo omusaayi era nasaba n’abalala okubalabirako.
Okugaba Omusaayi mu Ssaza lino kwakumala ennaku ttano era olwa leero kugenda kubeera mu gombolola ya Ssabawaali Mijwala.
Enteekateeka y’okugaba omusaayi mu Masaza yateekebwawo oluvannyuma lwa Beene okulagira abantu be okuwaayo omusaayi kiyambeko okukendeeza ku bbula lyagwo era ewagirwa ebitongole okuli Uganda Blood Transfusion Service, Uganda Red Cross awamu n’ekitongole ki Kabaka Foundation.