Omulabirizi w’e Namirembe eyawummula, Rt. Rev. Samuel Balagadde Ssekadde asabye obwakabaka bwa Buganda okukkiriza Abakristaayo okuzimba Ekkanisa ku kigo ky’omujulizi Musa Mukasa e Munyonyo era n’okubayambako mu kugizimba
kibanguyirenga okusabira mu kifo kino n’okukuza olunaku lwa Musa Mukasa.
Bino yabyogeredde mu kusaba e Mulungo Munyonyo okubaddemu okujjukira omujulizi Musa Mukasa Muzingiti eyattibwa nga May 25, 1886 oluvannyuma lw’okutoloka mu Lubiri n’abagalagala ne bagenda okusoma eddiini e Nateete, ekyanyiiza Kabaka Mwanga n’abatta.

Olunaku lwa Musa Mukasa lukuzibwa buli mwaka ng’okusaba kuno kutandikira
mu kifo awali ejjinja Musa Mukasa we yattibwa e Munyonyo wabula okwawukanako
n’emyaka emirala, ku mulundi guno abaweereza tebasobodde kusabira mu kifo kino olw’embeera y’ennyanja etaabadde nnungi..
Ate ye Ven Isaac Meembe Kijjambu Ssaabadinkoni w’e Mengo era nga y’atwala ekifo
kino yakuutidde Abakristaayo okubeera n’okukkiriza bakole ebyo Katonda by’ayagala era
beewale okutambulira mu kukemebwa.