BYA MUSASI WAFFE
Omubaka wa Kira munisipalite ate nga y’e mwogezi wa FDC Ibrahim Ssemujju Nganda alazze byagenda okukokola g’awangudde ekifo ky’omubaka wa palamenti eya 11 nti nga ogyeeko okukubiriza entuula za palamenti agenda kusokera kukukyuusa ntambula y’emirimu mu palamenti, okuyisa liooti zona IGG wa gavumenti, okumalawo okutya okuli mu ofiisi y’obwa sipiika bwa palamenti kubanga nti agenda kubeera mwangu owokutukaka kubanga ekifo ky’obwa sipiika bangi bakikozesa nebnaleeta pkutya mu bantu nebalemwa okubatukako nga balina ensonga gyebagala okubatusaako olw’okubeera nti nabo bakumwa magye na poliiisi.
Ayogedeeko nti Rebbeca Kadaga n’omumyuka we Jacob Oulanya abali mu kibalo kino mu buwereza bwabwe mu kisanja ekiwedde tebakoze bubi naye nti ye abasinganko nga alidde obwa sipiika mukawefube w’okukukomya banna byabufuzi abatayagala kuseguka mu bifo kubanga bangi bagala nnyo okubagobya n’e miggo.
Agugumbudde ebibiina ebili kuludda oluvuganya gavumenti okuli NUP nebilala ebiwagira Rebecca Kadaga owa NRM ate nebilekawo aba opozisoni nti situlago gyebyegeraku tebagimanyi kubanga wowagira owa NRM obeera onywerezza Museveni mu buyinza ekintu ate opopzisoni kyelwanilira okukukoma Museveni ave mu ntebe,.
Anyonyode nti kiswaazza kubanga NUP yesinza ababaka abangi mu palamenti kati gyetulabanga etukulembera kati ababaka baayo nga Ssewungu bwebanatandika okuwagira NRM , NUP enatukulembera etya netuwulira emirembe nga yelina agenda okukulira oludda oluvuganya ate ku bwa sipiika balonda ba NRM
Era Bobi wanasoma ebbaluwa gyamuwandikidde nga musaba ekibiina kye kimuwagire ayinza okugamba ku banne okuli Ssewungu nabalala abagamba nti bali tiimu Rebecca Kadaga.Ssemujju okwogera bino abade mu maka ge e Bukasa mu Kira Munisipalite.