SSENTEBE wa LC II e Luweero yasoose kulaalika babbi ababbye pikipiki ye n’abawa ennaku 10 bagizze we baabadde bagiggye ekyaddiridde kwabadde kumwokera mu nnyumba ne ffamire ye.Edward Ssekandi 49, abadde ssentebe w’omuluka gw’e Kibanyi mu ggombolola y’e Bamunanika mu disitulikiti y’e Luweero, abatemu abatanategerekeka baakozesezza petulooli ne bamwokera mu nnyumba ye ne ffamire ye.Ennyumba yabaddemu abantu 12 okwabadde ne balamu be abaabadde bamukyalidde okubaako ebizibu byebagonjoola ebyabadde awaka. Bana ku baabadde mu nnyumba baabaggyemu nga balamu ate munaana baayidde era babiri ne bafirawo mbulaga.
