Ssentebe w’abavubuka mu ssaza lya Ssaabasajja ery’e Buweekula omwami Masembe Deo adduukiridde baddereeva ba tax ku siteegi ya Highway ku kkubo eriva e Mubende okudda e Kampala bw’abawadde emmere ey’amatooke basobole okufuna eky’okuzza eri omumwa.
Omwami Deo ategeezezza Ssekanolya nti ye ng’omukulembeze w’abavubuka e Buweekula kibadde kimukwasa ekisa okulaba bavubuka banne nga bafa enjala ng’ate ye muvubuka mulimi ate nga n’ekirala yaliko mu mulimu guno ogwa taxi kwekuvaayo n’adduukirira banne basobole okufuna eky’okulya wamu n’abamaka gaabwe.
Era Deo ono ayongedde n’akubiriza baddereeva wamu ne bakondakita okuba abagumiikiriza wamu n’okwekwasa omutonzi abayise mu mbeera eno ey’omuggalo. Era wanno wasinzidde n’akubiriza bavubuka banne wonna mu Buweekula okwongera okugondera ebiragiro bya minisitule y’eby’obulamu wamu ne gavumenti.