SSENTEBE wa kakiiko akalwanirizzi k’eddembe ly’obuntu mu Uganda Mariam Wangadya avuddeyo n’asaba ebitongole byonna saako abantu ssekinnoomu okukomya ebikolwa by’okutyoboola eddembe ly’abantu era n’awera akufaafaagana n’abantu bonna abanaanq bakwatiddwa mu bikolwa bino.

Wano ssentebe wa Wakiso Dr.Matia Lwanga Bwanika weyasiimidde atwaala akakiiko kano mu Wakiso Elly Kasirye olw’okubeera omumuli mu kulwanirira eddembe ly’obuntu naddala ku bizinga ewatali mpeereza zimala.
Matia yategeezezza nti abantu bangi naddala abali mu bifo ebyamaanyi bakozesa bubi obuyinza bwabwe ne batuuka okulinnyiriira eddembe lya bantu abali wansi waabwe nga muno mwemuli obutabasasula,okubatulugunya ne birala.

abamu ku beetabye mu kutongoza alipoota eno kubaddeko Dr.Margret Sekagya eyakuliirako akakiiko ke ddembe ly’obuntu,bakkansala ba distrikiti,aba poliisi ,makomera ssaako ebibiina by’obwannakyewa nga bano beeyamye okukola buli kisoboka okulwaniriira eddembe ly’abalala.