Abakulembeze ku kyalo Bumbu-Kiteezi ekisangibwa mu town council y’e Kasangati bawuniikiridde ssentebe w’ekyalo kyalo kyabwe bw’awemuukirizza omubaka wa Kyaddondo East ate nga mulirwana we, Muwada Nkunnyinji nga bw’azzenga akola ebiwandiiko by’ayise eby’ebikcupuli ng’abiwa abantu okubireeta mu ofiisi ye eya L.C 1 basobole okuyambibwa nga kino gye buvuddeko ky’akwasa ssentebe w’e Bumbu – Kiteezi era n’asibibwa.
Bino ssentebe Zaake okubikoonako kiddiridde omutuuze Wilson Lukubaga okumwogerako ebya swakaba nga bwe yeekoobana n’abantu abatali bamu bamunyageko ettaka lye erisangibwa mu town y’e Kiteezi.
Kino kyewuunyisizza nnyo ssentebe w’ekitundu okuba nga omutuze we ate era gwe yayamba ennyo okumufunira ebiwandiko by’ettaka lye ate amwogerera amafuukuule.
Ssentebe Zaake Godfrey kino kyamuwalirizza okwekubira enduulu mu mbuga z’amateeka ng’avunaana Willison Lukubaga okwonoona erinnya lye nga yeekobaanye n’omubaka wa Kyaddondo East mu Palamenti, Muwadda Nkunyinji.
Nkunnyingi abyegaanye
Omubaka Muwadda Nkunnyingi ku lukomo lw’essimu ategeezezza nti ye talina muntu yenna gwe yali akoledde ku biwandiiko bya bicupuli nti kino ssentebe Zaaka akyekwasa kugezaako kubuzaabuza bye yamugambyeko ku by’okwagala okubba ettaka ly’abantu be era n’ayongera okumulabula nti bw’atakyuseemu waakufaafaagana naye mu mateeka.