Ababaka ba parliament owa Makindye West Allan Ssewanyana n’owa Kawempe North Ssegirinya Muhammed bakukulumidde bannabwe ku ludda oluvuganya government ababakudaalira nti okusibwa kwabwe mu makomera bakufunyemu.
Ababaka bano bombi babadde bamaze ku alimanda omwaka gumu n’ekitundu, ku bigambibwa nga government ebalumiriza okukulemberamu ettemu ly’ebijambiya ebyakyaka mu bitundu bye Buddu mu mwaka gwa 2021.
Abantu abasoba mu 30 bebattibwa abalala baasigala n’ebisago eby’amaanyi.
Ababaka bano mu lukungaana bannamawulire olusoose lwebatuuzizza oluvanyuma lw’ebbanga lya mwezi mulamba nga bayimbuddwa Allan Ssewanyana atulise n’akaaba, ng’agamba nti banna byabufuzi banabwe abavuganya government nabo basuse okweyisa nga abatali bantu, nga babasibako nti baafuna sente okuva mu government eya wakati.
Ssewannyana agambye nti okuyimbulwa kwabwe tekwalimu nteeseganya yonna ne government, era kooti yabayimbula esiimye oluvannyuma lw’okuwaayo obukadde bwa shs 20, saako okusingayo passport ye nebayimbulwa ku kakalu.
Ssegirinya Muhammed ye agambye nti tewali muntu gwebaateesa naye mu kubayimbulwa era kibakwasa ennaku bwebawulira ebigambo bino.
“Tewali yatuteeseza, era naffe tetweteeseza kutut.

Ekyatuteesa, kekazito mmwe bannamwulire kemwateekawo, akazito k’abazungu, aba Foot soldiers, embeera y’abalonzi baffe ate n’eddembe lyaffe”
Ababaka bannyonyodde nti olunaku lwebayimbulwa mu komera ,abasirikale babagamba bugambi nti mwambale tubatwale awaka muyimbuddwa, nga ne banna mateeka babwe tebanateeka mikono ku mpapula zibayimbula.
Kinajukirwa nti banna mateeka bábabaka bano bagenda nebagumba ku komera eKigo okunona abantu babwe okutuuka saawa mukaaga ez’ekiro nga kooti ekkiriza bayimbulwe, wabula bakanya kulinda okutuusa bwebakabatema nti ababaka batuusiddwa dda rwaka gyebaba babasanga.
Ababaka Ssegirinya ne Ssewannyana era bawakanyiza nebigambibwa nti waliwo abanene mu government abaabavujirira omusimbi mu kalulu aka 2021 nebabatuma emirimu nebagaana okujituukiriza, nti kyebaava babasiba.
Ababaka bagamba nti ekyamazima ekyabasibya tebakimanyi nga n’emisango gy’obutemu bw’ebijambiya n!obutujju egibavunaanamwa babasibako matu ga mbuzi kubaliisa ngo.
Wabula ababaka bano berayiridde nti tebagenda kuva ku mulamwa ogwábalonza mu bitundu byebakiikirira era ekomera teryabamazeemu maanyi ga kulwanirira nkyukakyuka mu ggwanga.