17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Taata w’omugenzi Olaxes ayagala kusisinkana Museveni.

KITAAWE w’omugenzi Ibrahim Tusuubira Lubega abadde amanyiddwa nga  Ismah Olaxess Jjajja Uchuli asabye akulira eby’e nsimbi mu maka g’omukulembeze w’e ggwanga Jane Balekye amugambire Pulezidenti nti ayagala kumusisinkana alina ekyama kye.

“Maama nze ng’omusajja omukulu bwendaba Pulezidenti w’e ggwanga ng’akusindise okukubagiza olw’okufiirwa mutabani wange ate nga yabadde andabirira maanya nti kituufu mukwano gwa maka gange gonna sso,  tabadde mukwago gwa Isma yekka” Bwatyo mzee Muhammed Kasajja taata w’omugenzi Isma bweyategezezza.

   Bino Mzeeyi Kasajja omutuuze w’e Zana Cell one, yabitegeezezza akulira eby’ensimbi mu maka ga Pulezidenti Jane Balekye eyamutwalidde amataaba  eggulo okuva ewa Pulezidenti Museveni ag’obukadde 10, okumukubagiza olw’okufiirwa mutabani we.

Mzeeyi Kasajja yagambye nti maama Balekye nsaba mukisa singa Pulezidenti abeera akkiriza  omusisinkana kubanga nina ebyama ng’omusajja omukulu bye nandiyagadde okumubulira nga ssiri  mu mawulire.Era wano Balyekye yakkiriza okutuusa obubaka bwa mzeeyi Kasajja ewa Pulezidenti era n’amusuubiza okumuddamu ssaawa yonna.

Related posts

Museveni avumiridde abasse Olaxes.

OUR REPORTER

Yiga okukozesa yintanenti okukola sente.

OUR REPORTER

Omumbejja Nassolo alabudde abazadde ku bannabyabufuzi .

OUR REPORTER

Leave a Comment