23.6 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Tayebwa alabudde ababaka mu Palamenti ku nsonga  ennyonyi ya Uganda Airline.

Amyuka Sipiika, Thomas Tayebwa alabudde ababaka mu Palamenti okwewala okwogera ku kunoonyereza okugenda mu maaso ku nnyonyi ya Airlines naddala ku nsonga Palamenti ezawamu zetanakubaganyako birowoozo.

Okulabula kuno Tayebwa yakukoze ku Lwokubiri bweyabadde akubiriza olukiiko luno.

Sipiika Tayebwa bweyabadde ayogera ku nneeyisa y’abamu ku babaka yagambye nti babadde boogera ku nsonga eziri mu kakiiko ka COSASE eri bannamawulire ekitatanye ekifaananyi kya kampuni eno.

Kino kyadiridde Ssaababalirizi wa gavumenti okuzuula emivuyo mu nzirukanya  y’emirimu mu kampuni eno mu mwaka gw’ebyensimbi ogwa 2020/2021.

Ebimu ku byazuulwa byalaga ebitankana  mu biwandiiko by’obuyigirize bwa Ssenkulu w’ekitongole kino, Jenifer Bamuturaki. Kino kyava ku Bamuturaki okutegeeza nga bwamaze emyaka 28 nga abanja ebiwandiiko bye okuva eri abakulu mu Makerere University.

Kino kyaleetera abamu ku bantu ba bulijjo awamu n’ababaka okukubaganya ebirowoozo ku kampuni eno ekintu abakulira kampuni eno kyebagamba nti kitatana erinnya lya kampuni eno awamu ne Palamenti.

Tayebwa era yalabudde abantu abatandise okuyingirira emirimu gy’akakiiko ka COSASE nga batiisatiisa abakola ogw’okubuuliriza bakikomye mu bwangu kuba omulimu gwebakola guli mu mateeka.

Omubaka wa Bubulo East, John Musila, nga ono bamulumiriza okulangira abakakiiko ka COSASE  enguzi ayagadde okwetondera Palamenti wabula Sipiika namulambika bulijjo okukuuma ekitiibwa kya Palamenti.

Related posts

Abavubuka 19 abaakwatibwa mu kibanda kya ffirimu e Nateete bubakeeredde.

OUR REPORTER

Abasuubuzi-bazinzeeko-bbondi-yemmotoka.

OUR REPORTER

Owek. Mayiga asisinkanye abavujirizi  b’amatikkira ga Kabaka.

OUR REPORTER

Leave a Comment