March 25, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Tebandeke talekeka mu ssaala z’e Kitimbwa

Bya Drake Ssentongo

KAYUNGA

Omubaka w’e Bbaale mu paliyamenti, Charles Tebandeke y’omu ku bakulembeze abasabirwa mu buli misa ku kigo kya St. Matia Mulumba e Kitimbwa mu Bbaale.

Bano okumusabira buli lukedde kidiridde ensawo za ssementi kikumu (100) zeyabawadde mu kumaliriza enyumba ya Katonda e Kitimbwa.  “Akatono ketufuna kwetudiza abantu baffe,” Tebandeke bwe yategeezezza Ssekanolya.  Ono yawerekeddwako ababaka okuva mu kibiina kya NUP ab’egatira mu mukago ogumanyiddwa nga G-20. 

Eklezia y’ekigo kya st.Matia Mulumba nga bw’efaanana munda

G-20 erimu ababaka ba NUP abiri (20) bokka nga buli mwezi babaako gwe basondera mu nkola ya ‘niigina’ okudiza ku bantu b’ekitundu ky’akiikirira.  Omwezi guno (May) G-20 eri Nakifuma ew’omubaka Fred Ssimbwa Kaggwa era nga ye sentebe wabwe.

Related posts

Foreign Capital & Taxation As A Matter Of National Interest

OUR REPORTER

FORTEBET GIFTS WOW KYEGEGWA, MUBENDE, MITYANA WITH PRICELESS GIFTS

OUR REPORTER

‘KABAKA’ WA ‘DRAW’ AKUBYE FORTEBET OBUKADDE 105 MU 1,000/=

OUR REPORTER

Leave a Comment