Abaddukanya ekitavvu ky’abakozi ekya NSSF bakubye ebituli mu lipooti ya palamenti eyavude mu kunoonyereza ku kitongole kino ne bawera nti si bakukkiriza kulekulira okuleka nga waliwo ensonga ey’omuzinzi ebavunaanibwa.
” Olukiiko lwa palamenti lwagambye tusooke tuddeko ebbali naye bateekedwa okumanya nti si ffe tweronda ate era tulina okusooka okulaba ensonga ez’omuzinzi ezitugobesa, ” Kimbowa bw’agambye.
Mu lukungaana lw’abamawulire lwe batuuziza ku offiisi zaabwe mu Kampala olwaleero ssentebe w’okukiiko olufuzi olw’ekitongole kino Peter Kimbowa yeebaziza palamenti olw’okubakolako okunoonyereza kyokka n’abeewuunya nnyo olw’obwangu bwe bakozeseza mu kunoonyereza okutuuka okufulumya lipooti mu bbanga lya wiiki ssatu zokka kyokka ng’ensonga ze banoonyerezako zimaze ebbanga lya myaka 20 .
Annyonnyodde nti lipooti ya palamenti yasinze kutunuulira bitaterede so nga ekitavvu ky’abakozi kikola bulungi nnyo bw’ogeraageranya n’amawanga amalala.

Agambye nti NSSF eyingiza ssente nnyingi era ekola amagoba mangi nga wano awadde ekyokulabirako nti we bayingirira ku bukulembeze bw’ekitongole kino ky’alina ssente tuliyooni 16 naye mu bbanga lya mwaka gumu n’ekitundu ssente zino zikuze okutuuka ku tuliyooni 18 ng’ era basuubira nti mu bbanga lya myaka 5 zijja kuba zituuse ku tuliyooni 20.
Patrick Ayota akola ng’akulira ekitavvu ky’abakozi ekya NSSF agambye nti bo tebalina ssente yonna gye bakumpanya yadde okubba era ne lipooti eyakoledwa ekyo terina weekiragira .
Alambulude nti ssente obuwumbi 6 n’akawumbi akamu n’omusobyo ( 1.8 b) ze babadde babalumiriza okwegabanya weeziri tebazikwatangako era babadde bakyalindiridde kufuna kulungamizibwa na kuweebwa pulaani ku nkozesa yaazo so ng’ate ne era n’obuwumbi 40 obw’abalimi nabwo webuli.
Ayota agumiza abakozi abatereka n’ekittavu ky’abakozi nti ssente zaabwe ziri mu mikono mituufu weziri era tebateekedwa kweraliikirira.