14.6 C
Los Angeles
December 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

‘Tugenda kukozesa poliisi okugumbulula abeerimbika mu kufuna paasipooti ‘

MINISTULE y’ensonga z’omunda mu ggwanga etegeezezza nga bw’egenda okutandika okukozesa eryanyi nga yeeyambisa poliisi okugumbulula abantu abayitiridde okukungaana mu bungi ku offiisi z’ekitebe kino nga beerimbise mw’abo ababeera bazze okufuna paasipooti .

Dr. Benon Mutambi, omuwandiisi  ow’enkalakkalira mu ministule eno ategeezezza bannamawulire olwaleero nga bwe basanze okusoomoozebwa olw’amakampuni agatwala abantu ebweru agaleeta ne gayiwa awo abantu okufuna paasipooti mu nnaku ezitali zaabwe.  Asabye abantu okujja ku kitebe kino ku nnaku ze baba bayitiddwaako ,era anaalemwa okukigoberera ajja kukwatibwa atwalibwe ku poliisi .

Yategeezezza nti  gavumenti erina enteekateeka ey’okufunayo ekifo ekirala mu bbanga eritali lya wala  abantu we bajja okunonanga paasipooti kiyambeko okukendeeza ku mujjuzo ku ministule wamu n’okuyambako abantu obutaferebwa olw’abo abakozesa omukisa ng’abantu bakungaanye mu bungi ne batandika okubafera .

Dr. Mutambi era ategeezezza ng’ omuwendo gw’abantu abagenda ebweru w’eggwanga okukola  bwegweyongedde nga kino akigeraageranyirizza ku bungi bwa paasipoti kati ezigabibwa okuva ku paasipoti  14,166 mu December 2020 okutuuka ku paasipooti 18,894 ezaakagabibwa omwezi guno .

Ajjukisa Bannayuganda okugenda bunnambiro okukyusa paasipooti zaabwe kuba paasipooti enkola enkadde zonna zigenda kukoma okuddizibwa obuggya nga  April 4, 2022 era tebasuubira kwongezaayo.

Related posts

Ssaabasajja asiimye obuweereza bwa Dr.Paul Ssemogerere.

OUR REPORTER

PULEZIDENTI BAMULABUDDE OBUTAZZA BAAGWA KUBWA MINISITA

OUR REPORTER

Obujulizi bweyongedde obuluma Kirabo okutta muganzi we Mirembe.

OUR REPORTER

Leave a Comment