Akakiiko keggwanga akeby’okulonda aka Uganda electoral Commission kyaddaaki kagenda kusengula ekitebe kyako okuva wekali ku Jinja road ,kitwalibwa mu industrial area mu offices ezaali ezekitongole ky’eggwanga ekizimbi, ki National housing and construction company ku luguudo seveth street ekibanja namba 1-3 ne 5.
Ettaka okutudde office z’akakiiko keby’okulonda ,ekitongole Kya UNRA kiryetaaga okuyisaako oluguudo lwomubbanga.
UNRA werutuukidde olwaleero nga yakawa akakiiko keby’okulonda obuwumbi obusoba mu 60 okunoonya ewalala wekasengukira.
Akakiiko kebyokulonda kaze kanoonya ettaka okusenguka wabula vvulugu mungi azze yetobeka mu nteekateeka eno.
Gyebuvuddeko president Yoweri Kaguta Museveni yayimiriza enteekateeka zakakiiko kebyokulonda kano okugula ettaka mu bitundu by’e Butabika okutudde essomero lya Gems, oluvanyuma lwokukitegeera nti ebbeeyi yalyo yali edduumuddwa okutuuka ku buwumbi obusoba mu 100.
Leonald Mulekwa omuwandiisi w’akakiiko keby’okulonda agambye nti kati baafunye office empya webagenda okusengukira, era okutandika olunaku olw’enkya ng’ennaku z’omwezi 16 December, office zoku Jinja road zigenda kuggalwa okusobozesa enteekateeka zokusenguka okugenda mu maaso.
Leonald Mulekwa agambye nti ekitebe ekiggya mu industrial area ku luguudo lwa sevenths street ekibanja 1-3 ne 5,zakuggulibwawo ng’ennaku zomwezi 16 omwezi ogwa January omwaka ogujja 2023