Bagavana ba bbanka zino okubadde Dr. Patrick Njioroge okuva e Kenya, Polof. Florens Luoga ow’e Tanzania, Drier Tong Ngor ow’e South Sudan, Dr. Monique Nsanzabaganwa ow’e Rwanda , omumyuka wa gavana wa bbanka ya Uganda Enkulu , Louis Kasekende, Venutse Ndikumwenayo ow’e Burundi ne Keneth Bagamuhunda ow’oku kitebe ky’amwanga g’obuvanjuba bwa Afrika.
Polof. Emanuel Mutebile akulira Bbanka Enkulu eya Uganda ye yakubirizza olutuula lw’akakiiko k’amawanga g’obuvanjuba bwa Afrika akakwata ku by’ensimbi aka ‘East African Monetary affairs committee (MAC) olwetabiddwaamu bagavana bano olwayindidde ku Serena Hotel mu Kampala.
Bagavana baagambye nti entegeka z’okulaba ng’amawanga gano gakolagana bulungi mu by’ensimbi zitambudde kasoobo era mulimu okusoomozebwa kwa maanyi.
Bakkiriziganyizza okukolagana n’abakulembeze b’omu mawanga gano okulaba ng’entegeka z’amawanga gano okutambulira awamu mu by’ensimbi kutambula bukwakku.
Ebimu ku bituukiddwako mu nkwatagana y’amawanga gano mu by’ensimbi kuliko; okutereeza ebikwata ku by’okuvungisa ensimbi zino okuva mu nsi emu okugenda mu ndala (exchange rates), amateeka agafuga Bbanka Enkulu mu mawanga gano.