Ekibiina ekifuga Omupiira mu ggwanga erya Uganda ekya FUFA kyakakasizza nga Uganda Cranes bwegenda okusamba omupiira ogw’okwegezaamu ne ggwanga erya South Africa ennaku z’omwezi nga 10 omwezi ogujja. Abasambi 34 baayitiddwa omutendesi Abudallah Mubiru omutendesi owakaseera era nga bano beeyanjudde mu nkambi ku sande gyetwakakuba emabega wali ku Cranes Paradise Hotel mu Kisaasi nga bakatendekebwa okumala ebbanga lya naku kkumi.
Mubaayitiddwa mwe muli:
Ba goolokipa: Watenga Ismael (Chippa United), Lukwago Charles (KCCA), Tamale Simon (Bright stars fc), Kigonya Mathias (Azam fc)
Abazibizi: Bwomono Elvis (Southend United), Wafula Innocent (Mbarara City), Willa Paul (Vipers SC), Kizza Mustafa (Montreal Impact), Kayondo Aziizi (Vipers SC), Lwaliwa Haliid (Vipers SC), Juuko Murushid (Express fc), Kizito Mugweri Gavin (SC Villa), Ssemakula Kenneth (BUL fc), Mbowa Paul Patrick (URA fc), Walusimbi Enock (Express Fc) Muhamud Hassan (Police fc).
Abawuwuttanyi: Lwanga Taddeo (Simba SC), Waiswa Moses Ndhondi (Super sport United), Byaruhanga Bobosi (Vipers SC), Sserubiri Ivan (URA fc), Anukani Bright (KCCA fc), Kagimu Kuchi Shafik (URA fc), Mugulusi Isma (Busoga United fc), Serwadda Stephen (KCCA fc), Lumala Abdu (Pyramids fc), Ibrahim Orit (Vipers SC), Akandwanaho Joseph (Bright stars fc)
Abateebi: Okwi Emmanuel (Ittihad Alexandria fc), Bassangwa Richard (Vipers SC), Patrick Kaddu (Youssouffia Berrechid), Kakooza Derrick (Police fc), Sentamu Yunus (Vipers SC),Kambale Eric (Express fc) ne Allan Okello (AC Paradou)
Omusambi Emmanuel Okwi alondeddwa nga kapiteeni wa ttiimu ye ggwanga oluvannyuma lwa eyali kapiteeni Denis Masinde Onyango okuwummula omupiira gwe ggwanga. Onyango abadde kapiteeni okuva mu 2017 nga asikira Geoffrey Massa eyali akutte ekikomo okuva Andrew Mwesigwa lwe yakitta.
Okwi alina obumalirivu ku ttiimu ye ggwanga gyasambidde okumala emyaka egisoba mu kkumi era nga yeetabye mu mitendera egyenjawulo okuli empaka za Afirika ezakamalirizo mu 2017 ne 2019. Kino omutendesi Mubiru kyeyatunuulidde okumukwasa obwa kapiteeni olw’obumanyirivu bwalina ku ttiimu ye ggwanga n’okuba nti y’omu kubasambi abasinga okulwa ku ttiimu ye ggwanga.
Okwi yali akutteko ekikomo naddala nga kapiteeni asooka Onyango ne munne Hassan Wasswa nga tebali ku ttiimu, Okwi yeeyakwatanga ekikomo, n’olwekyo tekijja kuba kipya nnyo ku luuyi lwe.
Okwi 28, asambidde ku kiraabu ez’enjawulo omupiira ogwe nsimbi nga SC Villa (Uganda), Etoile du Sahel (Tunisia), Simba ne Young Africans (Tanzania), Sonderjyske (Denmark) wamu ne Ittihad eye Misiri. Asambidde Uganda okuva 2011 era nga ajiteebedde goolo 26.
Emmaneul Okwi omutebi wa Uganda cranes