Ensimbi Uganda zeefuna mu kutunda emmwaanyi ku katale k’ensi yonna zeyongedde nga kati zituuse ku bukadde ddoola 876.4 mu mwaka gw’ebyensimbi oguwedde ogwa 2021/ 2022 ogwaweddeko nga September 30.
Kino kitegeeza nti ensimbi zino zeeyongedde ebitundu 39 ku buli 100 (39%) bwogeraageranya n’omwaka oguwedde wadde obungi bw’emmwaanyi ezitundibwa gukendedde.
Ebibalo okuva ku kitongole ekivunaanyizibwa ku mmwaanyi mu ggwanga ki Uganda Coffee Development Authority (UCDA) biraga nti, Uganda yatunda emmwaanyi obukadde 5.58 eza kiro 60 mu mwaka gw’ebyensimbi oguwedde ate nga mu mwaka ogwayita zaali obukadde 6.5.
“ Okwesala mu mmwaanyi ezitundibwa ebweru kivudde ku sizoni eyali embi, amakungula negataba malungi olw’ekyeeya ekyali mu bitundu ebisinga,” Alipoota okuva mu UCDA bwesoma.
Okusinga emmwaanyi za Uganda zatundiddwa e Italy, Sudan, Germany, India, Morocco, Tunisia , Somalia, Egypt, Libya ne Kenya.
Okuva mu mwaka gwa 2014, ensimbi Uganda zefuna mu mmwaanyi zizze zeeyongera wabula nga gavumenti esuubira nti singa ebaako byeyongera okulambika zino zisobola okwekubisaamu.
Mu mwaka gw’ebyensimbi ogwa 2014/15 ogw’emmwaanyi, Uganda yatunda obukadde 3.24 obw’ensawo z’ emmwaanyi eza kiro 60 nga zino zibalirirwamu obukadde bwa ddoola 403.
Aba UCDA bagamba nti wadde September wa 2022 abaddemu enkuba esaanidde eri abalimi okusimba emmwaanyi naye bangi tebasimba olw’okulemwa okufuna endokwa nga kino zaleeteddwa enkyukakyuka mu nteekateeka ya gavumenti ey’emmwaanyi ng’eyita mu Pulogulaamu ya Parish Development Model (PDM).
Ekitongole ki UCDA nga kikolagana naba National Coffee Research Institute (NaCORI) bakola okunoonyereza ku ndwadde ezisumbuwa emmwaanyi nebazuula nti akawuka akalya empeke n’emirandira gy’emmwaanyi kyekimu ku bizibu ebisinga okutawaanya abazirima mu bitundu bya Elgon.